OKULONDA KW’AKAMYUFU KA NRM:Okw’emiruka okutwaliza awamu kubadde kwa mirembe
Okulonda kwa NRM okw'emiruka mu bitundu bya Kampala, kubadde kwa mirembe okutwaliza awamu yadde nga tekubuzeemu buvuyo obutonotono mu bitundu ebimu. Obuvuyo buno bubadde mu bitundu bye Najjanankumbi abamu ku bawanguddwa bwe basazeewo okusiiwuuka empisa ne bayuza olukalala lw'abalonzi n'okwagala okugajambula abalondesa . Omusasi waffe aliko byajje mu bifo ebyenjawulo.