OKULIISIZA EBISOLO MU NNIMIRO :RDC w’e Ssembabule aliko munnamagye gw’alabudde
Omubaka wa President e Ssembabule Jane Francis Kagayi atadde ku nninga Munna magye Colonel Naboth Mwesigwa okukomya omuze gw'okuliisiza ente ze mu malimiro ga batuuze nti tali waggulu wa mateeka. Kagaayi asinzidde mu lukiiko lyayise ku kyalo Sserinya mu gombolola ye Kiwanda e Ssembabule nga agendereddemu kulaba nti akaanyisa enjuuyi zombi olw'abatuuze n'olwa Munna magye Ono.