OGWA UGANDA NE TANZANIA: FUFA eyogedde lwaki basambidde Cairo (Egypt )
Oluvannyuma lw’ekisaawe kya St. Mary's Kitende, Uganda mweyali ekyaliza emipiira obutatuukana na bisaanyizo bya kibiina ekitwala omupiira ku lukalu lwa Africa, FUFA yasalawo okukyaza emipiira gy'ayo egisigadde mu ggwanga lya Egypt mu mpaka z'okusunsula abanaazannya AFCON. Wetwogerera nga ttiimu y'eggwanga, Uganda Cranes yatuuse dda mu kibuga Cairo era nga balindiridde okukyaza ttiimu ya Tanzania. Kati olw'aleero aba FUFA bavuddeyo ne batangaaza ku nsonga lwaki baalonda Egypt wadde waaliwo n'ensi eziri okumpi nga Tanzania n'endala gye baali basobola okukyaliza.