NAMUKADDE KABARWANYI: UPDF ekyalemereddwa okuzzaawo ennyumba ye eyayonoonebwa
Mu mwaka 2022 waliwo ennyonyi ya UPDF, ekika kya Namunkanga eyagwira ennyumba y'omutuuze we Saaka mu kibuga Fort Portal era nemwononera ennyumba kko n'ebirime. UPDF mu kiseera ekyo yeeyama okubaako kyekola okuzzaawo ebyali byonooneddwa wabula nga n'egyebuli eno tewali kye yali ekozeewo. Omutuuze eyayonoonerwa ebibye ye Peruth Kabarwani nga n'egyebuli eno talina wankakkalira wabeera okuggyako okusuzibwa mu benganda.