OKUTUMBULA ABA GHETTO:Waliwo abaweereddwa entandikwa mu Kampala
Abadukanya program emanyiddwa Youth Wealth creation Programme okuva mu maaka g'o mukulembeze w'e gwanga ekulibwa Jane Barekye basomeseza abakyala n'abavubuka abasoba mu 300 okuva mu kisenyi ne Katwe okubayambako okwetandirawo emirimu.Bano oluvanyuma babagabidde ebyalani , obuuma bwemberenge abakyala abasiika chips bawereddwa ensawo zobumode ne kidomola kya butto n'abavubuka abasiika chapati bawereddwa ekidomola kya butto ne carton ye ngano.Bano basabiddwa obutabitunda wabula obikozesa okufunamu capital okuyimirizawo amaaka gabwe.