Maama wa Ssegirinya akedde kugumba ku wofiisi ya Mao
Justine Ssanyu Nakajumba, Maama w'omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya leero akedde kugumba ku ofiisi ya minisita omupya ow'ebyamateeka okwekubira enduulu ku nsonga za Mutabani we amaze ebbanga mu nkomyo. Ono abadde ayise ne mukyala wa Ssegirinya Twahirah Akandinda abakuumi ku ofiisi ya Minisita Norbert Mao bano babakomezza ku mulyango oluvannyuma lw'okubategeeza nti minsita tabaddewo. Nakajumba agamba nti ayagala bwenkanya eri mutabani we.