Loole enneettissi z’amafuta e Busia zikyagaaniddwa okuyingira
Loole enneettissi z’amafuta ezisoba mu 500 ezikyagaaniddwa okuyingira mu Uganda olw’ekiragiro ekyayisiddwa wakati mu kutangira obuzzi bw’emisango nga egy’obutujju wakati mu kiseera eky’okulayiza Pulezidenti. Ba dereeva ba loole zino bakooye okulinda okumanya ekiddako kyokka n’abantu mu kitundu ekyo loole wezisimbye batya nti essaawa yonna, ziyinza okuvaako omuliro ne guzisa ebyalo n’abantu