ETTEEKA KU NKUNG’AANA: Poliisi ekatemye abasagambiza olw’ensala ya kkooti
Poliisi erabudde abo bonna abali mu kujaganya ku kya kkooti etaputa amateeka okugaana Poliisi okuyimiriza enkungaana nga yesigama ku butategezebwako , nti beeyinule mpola. Poliisi etegeezezza nga kino bwe kikyasobokera ddala obulungi nga eyita mu tteeka eririwo oba Penal Code akatundu ake 65 . Kano kawa poliisi olukusa okusattulula abantu ababa bakungaanye nga bali basatu oba okusukkawo singa etebeereza nti bayinza okuba ab'obulabe mu ngeri yonna. Poliisi era egamba nti n’akawaayiro akakwatagana ku kusooka okugisaba olukusa kkooti teyakasazizzaamu.