ERINNYA LYA NUP: Omulamuzi agobye omusango gwa Kibalama ne banne
Kkooti enkulu e Kampala egobye okwemulugunya Moses Nkonge Kibalama ne banne kwe baatwalayo ku ky'okukyusa eryali erinnya ly'ekibiina kyabwe, langi n’obukulembeze byonna ne byeyubulirira mu kibiina kati ekiyitibwa National Unity Platform. Omulamuzi Musa Ssekaana mu nsala ye alaga nti Kibalama ne banne baalabika nga beenoonyeza byabwe bye bataabuulira kkooti kubanga baabulwa ensonga ey’essimba ekkirizika gye bawa kkooti. Kaakaati ensala ya kkooti eyongedde abakulembeze ba NUP amaanyi n'essuubi abaludde nga beewuunaganya ku kibadde kiyinza okuddako kkooti singa tesaze bwetyo