Emirambo gy’abaafudde, ba nnyinigyo baakukeberwa endagabutonde
Police etegezeezza nga bwebagenda okusooka okujja endaga butonde ku bantu abafiiridde mu njega y'omuliro ogw'akutte akawungezi k'eggulo, motoka y'amafuta bweyakutte omuliro mu bitundu by'e Kigoogwa. Abantu 15 kikakasibwa nti bebafiiriddemu.Ab'enganda za bano, bakedde ku ggwanika ly'eddwaliro e Mulago okuddukira emirambo gyabwe, wabula olw'okubanga bangi baayidde nebasirikka, kibadde kizibu okwawula ani y'ani.