Embeera z’abakadde, bakuutiddwa okwewala okuganza abato
Minister avunaanyizibwa ku nsonga z'abantu abakuze mu myaka Dominic Mafwabi Gidudu akubirizza abakadde okwewala okuwasa oba okufumbirwa abantu abatali ba myaka gyaabwe saako n'okwewala okugabanya eby'obugagga byabwe mu butali bwenkana kyagamba nti kino kiviiriddeko abakadde bangi okuyita mumbeera ey’okutulugunyizibwa. Minister Mafwabi agamba emirundi egisinga abakadde batulugunyizibwa ababeezi baabwe olw'obutenkanya myaka, kyokka n’abaana bebazaala babatulugunya olw'ebyenfuna.Bijjidde mukiseera ng'eggwanga ly'etegekera okwegatta ku nsi yonna okwefuumintiriza ku lunaku lw'abakadde olubeerawo buli nga 20 omwezi guno olw'okutulugunyizibwa kwebayitamu.