EKIZINGA MPUUGA: Abasulirira okuzaala basanga okusomoozebwa kw’amaanyi
Mu mboozi yaffe esembayo ku biri ku kizinga Mpuuga, tutunuulidde okubonaabona abakyala ab'embuto kwe bayitamu olw'okubanga ekizinga tekiriiko yadde ka kilinika we basobola okufuna obujjanjabi.Abakyala abanaatera okuzaala balina kwetegula kizinga ne bapangisa ku lukalu bazaalireyo oluvannyuma badde eka.Patrick Ssenyondo katwongere emboozi ku kizinga Mpuuga.