EKIKOPO KY’AFRICA: Kayondo, Ochaya ne mukwala beegasse ku Cranes
Aziz Kayondo, Joseph Ochaya ne Steven Mukwala be bamu ku bannayugana abasamba ogwensimbi abeegasse ku nkambi ya ttiimu yeggwanga mu Kibuga Cairo nga yeetegekera okuzannya Tanzania mu z'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za AFCON .
Omupiira guno gwandikyaziddwa wano wabula eggwanga teririna Kisaawe kituukana na mutindo CAF gweyetaaga. Okyaya agamba basuubira buwanguzi mu mupiira guno.