EDDAGALA ERIGEMA COVID-19: Bannassaayansi bagamba ssi lyakufuluma kati
Bannasayansi bategeezezza nga bwewatali ddagala lya Covid-19 likolebwa mu ggwanga mu kiseera kino, nga bangi bwe babadde basuubira kubanga kyetaagisa kumpi emyaka 15 okuvaayo n’eddagala ekika kino. Bino babyogeredde mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasanya y’ensimbi mu bitongole bya Gavumenti ka Public Accounts Committee gye babadde okutangaaliza ku nsasaanya y’ensimbi ku kirwadde kya Covid-19 mu myaka gye byensimbi 2019/2020 ne 2020/202. Ye eyali ateekerateekera minisitule ya saayansi ne tekinologiya David Obong alumirizza minsita wa sayansi Dr. Monica Musenero okukukulira ebiwandiiko ebikwata ku nsaasanya y’ensimbi z’okulwanyisa covid-19.