Ba boda boda abakolera mu Kampala Central balonze abakulira
Ba ssentebe b'abagoba ba boda boda ku siteegi ezejawulo mu masekati ga Kampala beronzeemu omuntu agenda okutuusa ensonga zaabwe mu bakulu abaddukanya ekibuga aba KCCA. Kyebagenderedde kwe kulwanyisa abantu ababadde berimbika mu mulimu guno nebakola ebikolobero ebivuganya omulimu gwabwe. Okulonda kuno okuyindidde ku kisaawe kya Old Kampala era nga Charles Ndugwa yalidde mu banne akendo.