Abaddukanya entambula ya bbaasi balinnyisizza ebisale
Abaddukanya entambula ya Bus abegatidde mu kibiina kyabwe ki United Bus owners association bategezeezza nga okutandika n'enkya bwebagenda okwongeza ebisale bya bus wonna mu ggwanga. Bano bagamba kino kivudde kubbeeyi yamafuta eyekanamye nga kwotade nokusaabaza abantu abolubatu olwebiragiro ebyateekebwawo ku kutangira okusaasana kwa covid 19. Wabula ministry evunanyizibwa ku byentambula etegezeeza nga emiwendo gino bwegyitannaba kukaanyizibwako nga kino kigya kukolebwa nga enjuyi zombi zimaze okukubaganya ebirowozo ku bisale bya bus ebipya. Kinajjukirwa nti gavumenti yavaayo netegeeza nga bwetalina kyamaanyi kyeyinza kukola ku beeyoi yamafuta eyekanamye enaku zino.