Ab'e Kyaka 1 bakkiriziddwa okuwebwa ekyapa
Kitegeerekese ng'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni bwe yakkiriza Abantu abeesenza ku ttaka lya gavumenti erya Kyaka 1 eryabudamizibwangako abanoonyi b’obubudamu mu disitulikiti ya Kyegegwa, okuweebwa ebyapa ebibakakasa ku bwannanyini Onojjukira nti ettaka lino museveni yali ayagala liweebwe musigansimbi alikulaakulanye wabula olw'obungi bw'abantu abaali baalyesenzaako n'aliggyamu enta Amyuuka Sabawoleleza wa gavumenti Jackson Kafuuzi y'akakasizza nti ddala omukulembeze w'egganga yakkirizza abantu bano okuweebwa ebyapa