Abantu abakazibwako erya Namagoye balaze obwennyamivu eri abantu abakyagenda mu maaso n'okubaboola
Abantu abakazibwako erya Namagoye balaze obwennyamivu eri abantu abakyagenda mu maaso n'okubaboola songa n'abandi bakyalina endowooza y'okubakozesa mu bikolwa byabkalogo kalenzi okufuna obugagga. Okwogera bino babadde basisinkanye e wakiso okukuza olunaku lwabwe n'ekigendererwa ky'okumanyisa abantu nti nabo bantu nga abalala mpozzi n'okumalawo obulimba obuwanuuzibwa ku bbo. Bano era bakiikidde ensingo abasajja ababakozesa nebabazaalamu abaana kyokka nebatafaayo kubalabirira.