OMUJULIZI ANDREW KAGGWA: Biibino ebitonotono ebimukwatako
Ekifo ky'e Munyonyo kino, kirimu abajulizi ba mirundi kumpi ena abattirwawo nga wano wetuli Andrew Kaggwa weyafiira. Kumpimpi n'okuva wano awo ng'otuuka ku luguudo lwa Entebbe Express way ng'okozesa olw'e Salaama, waliwo ekifo Denis Ssebugwawo weyafiira, ate era ku lw'e Ssalaama webayyita e Ttaka Jjunge, Ponstiano Ngondwe webaamuttira.E Mulungu, abasinga gye mumanyi olw'ekyennyanja, Musa Mukasa nga yali mu Anglican eyo gye yattirwa.Twagala okumanya ebitonotono ku bajulizi bano.