“Mwewale empisa embi,” Nnankulu wa KCCA alabudde abasirikale b’ekitongole
Akulira ekitongole ki KCCA Sharifah Buzeki alabudde abasirikale b'ekitongole kino ku by'okwezibika nga ekyoja mumiro okuva mubatembeyi bebabeera bageze okugoba ku nguudo. Bino bibadde munsisinkano Buzeki gyabaddemu nabasirikale bano ng'ebadde egendereddwamu okugonjoola ensonga ezibasoomooza nga bakola egyabwe