“ESSAAWA YONNA TUFUUKA KIBIINA”:Aba PFF bagamba babulako kugenda mu kyapa
Bannakisinde ki PFF bategeezezza nti bwe kataligirya, mu kalulu ka 2026 baakwetabamu ng'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiwandiise oluvannyuma lw'okumaliriza emisoso gyonna egyabasabibwa.Tukitegedde nti PFF ebulako kukubibwa mu kyapa kya gavumenti oba Gazette.
Akikulira mu kiseera kino asabye abawagizi baabwe obutepampalika kwesimbawo kuvuganya mu bifo gye balina busobozi, wabula basooke bazimbe kino kinywere.