‘Bbomu’ e Munyonyo, abantu babiri bafudde, ekifo kisaliddwako
Abantu babiri bakakasidwa okuba nga bafudde oluvanyuma lw’ekintu ekiteberezebwa okubeera bomu okutulikira mita ntono ddala okuva ku kigwa ky’abajjulizi eky’emunyonyo ewadadde misa y’okujjukira abajjulizi ba Uganda.Ayogerera amagye g’eggwanga Chris Magezi atubuulidde nti bano babade babalondoola,olubalabirizza nga basalinkiriza okutuuka e munyonyo ne babambalira.Kyoka kino tekirobedde kitambiro kya misa kugenda mu maaso, akulembeddemu Rev Fr Paul Mutaasa neyeebaza nnyo abajjulizi ba Uganda okubataasa ekibambulira kino.