Obulabirizi bwa Bunyoro-Kitara: Rev Canon Jacob ateirweho ye mulabirizi omuggya
Abakrisitaayo mu bulabirizi bwa Bunyoro Kitara bakyali mu kukyakyankya oluvannyuma lw'okufuna Omulabirizi agenda okudda mu bigere by'agenda okuwummula Samuel Kahuma. Rev. Canon. Jacob Ateirweho kati ye mulabirizi omulonde era nga asuubirwa okutuuzibwa nga 11 Ogw’omunaana omwaka guno.