Natti eyateereddwa ku bakulembeze: Robert Kyagulanyi ayagala eteekebwe ne kubalala
Robert Kyagulanyi Ssentamu, akulira ekibiina ki NUP asanyukidde ekikolwa kya Bungereza okuteeka natti ku bakungu ba gavumenti okuli Sipiika wa palamenti, Anita Among n'ab’aliko ba minisita b’e Karamoja okuli Mary Gorret Kitutu ne Agnes Nandutu olw’okwenyigira mu bulyake kubigabibwa nti babulankanya amabaati agaali agabawejjere.
Ono agamba enkiiko zebazze batuulamu n’amawanga gano zezivuddemu omulamwa mukulwanirira eddembo ly’obuntu sosi tteeka ku bisiyaga nga bwebibungeesebwa.