Mukuume enkolagana: Katikkiro akubirizza ba ssenkulu b'ebitongole by'obwakaba
Katikkiro akubirizza abakulembeze b’ebitongole by’obwakabaka okugonjaawo enkolagana mu masekkati gaabwe wamu n’abakozi be bakozesa nga lwebanaasobola okutambuza obulungi ebitongole byebakulembera.
Ono agamba bangi ku bakozesa balemererwa okutuukirirza ebigendererwa byabwe lwa nkolagana mbi wakati wabwe.
Okwogera kino, Katikkiro abadde asisinkanye ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda e Bulange Mengo.