Omukazi yasse omwana wa muggya we
Omukazi ow’ettima kigambibwa nti yakakkanye ku mwana wa mugya we n’amutta n’omulambo n’agusuula mu kibira okumpi n’essomero omwana ono gyabadde asomera. Omukazi ono poliisi emaze kumukaza nyo nalyoka akiriza nti alina kyamanyi ku bifa ku mwana ono abadde anoonyezebwa.