Akeediimo ka bannamateeka: Engeri ak’e Masaka gye kakosezza abalina emisango
Abantu okuva mu bitundu by’e Masaka batubuulidde nti olw’okwekalakaasa kwa ba puliida olwa kkooti enkulu okubula abalamuzi nti kati abamu abagala okugonjoola ensonga zaabwe naddala ezekuusa ku ttaka nti kati baddukira wa ba RDC, kubanga zi kooti mukiseera kino tezisobola kubataasa.Tubaddeko ku kkooti enkulu e Masaka okumanya bye bitambuula oluvanyuma lwa ba puliida okulangirira okwekalakaasa okugenda mu maaso.