Abaliko obulemu bagamba, basomozebwa mukufuna obujjanjabi
Abakyala abaliko obulemu abeegattira mu kibiina ki Uganda Disabled Women’s Association bagala gavument e bazimbire amalwaliro ag’enjawulo okuyambako nadala ku bakyala abazala. Bagamba nti abakyala bangi bakyasanga okusomooza nadala mu kufuna obuwereza muby’obulamu. Okwogera bino babade baliko obujjanjabi obw’obwerere bwebafuna e Kireka mu gombolola y’e Namugongo e Kira.