ENKOLA YA KKOOTI Z’ABASIRAAMU :Waliwo abakyala abaddukidde mu kkooti etaputa ssemateeka
Waliwo bannamateeka abakyala awamu nebanakyeewa abaddukidde mu kkooti etaputa amateeka nga baagala eragire Palamenti eyise ekiragiro ekirambikanga nga kkooti z'obusiraamu ezituula ku bitebe by'obusiraamu bweziriwo mu mateeka. Mu kino bagaala ennamula ya kkooti zino essibwemu ekitiibwa. Kkooti z’obusiraamu zino ezimanyiddwanga Qadhi courts zaweebwa ebeetu okugonjola ensonga z’obusiraamu wabula ssemateeka wa 1995 teyaziwa lukusa kuwereza nga kkooti ez'obulijjo