Rhoda Kalema, omu ku bakyala abaasooka mu palamenti afudde
Omu ku bakyala abaasooka okukiika mu lukiiko olukulu olw'eggwanga Rhoda Nsibirwa Kalema afudde. Kalema ono abadde amanyiddwa ennyo nga Maama Palamenti nga yaweerezaako nga minisita mu gavumenti ya Binaisa ne Museveni afiiridde ku myaka 96. Ono yafiiridde mu ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi gyabadde ajjanjabirwa. Wetuggyidde ku mpewo n'abafamire bakyakola ku nteekateeka z'okumuziika .