Ow’e Ssese alojja embeera mwayita n’abaana be baamulekera
Waliwo omukyala ku bizinga e Kalangala atuuse ekiseera n’ava ku by’okufumbirwa lwa mbeera ya ku bizinga kumukaluubirira. Ono azze afiirwa buli musajja gw’abadde afuna ate abalala b’afuna bwe bamala okuzaala ne basuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe.Embeera eno emufudde maama era ye taata w’abaana era alojja obuzibu bw’azze ayitamu.