Otafiire agamba akalulu ka 2026 kaakutegekebwa mu ngeri ey’emirembe
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Major Gen. Kahinda Otafiire awadde banna Uganda essuubi nti gavumenti yaakutegeka okulonda kwa 2026 mungeri ey’emirembe era egoberera amateeka. Otafiire abadde mu nsisinkano n’abebibiina eby’obwannakyewa n’asaba buli yenna agenda okwetaba mu kalulu kano okukola obuvunaanyizibwa bwe awatali kuyingirira mulala okwewala obukuubagano. Ono era ayagala banna kibiina kye ki NRM bejjemu enkola ey’okwagala okukaka banna Uganda abatabawagira okukkiriza ebyo byebakkiririzaamu n’agamba nti mukiseera eky’ebyokulonda buli muntu akkirizibwe okwegazaanyiza mu ddembe lye eryokuwagira gwayagala mu ngeri egoberera amateeka.