OMUSAWO W’EKINNANSI SWAIBU MIRUNDU: Maama Fiina agaddewo essabo lye lwa kukabassanya baana
Obukulembeze bw'abasawo b'ekinnansi mu ggwanga, busazeewo okuggalawo ekifo omusajja Swaibu Mirundi mw'abadde asawulira abantu, oluvannyuma lwa poliisi okumugombamu obwala.Olunaku lw'eggulo twakulaze poliisi ng'erumbye ekifo Mirundi mw'akolera emirimu gy'okusawula nga kiteeberezebwa nti abaana b'abakuumiramu ate abadde abasobyako.Abaana abalumiriza Mirundi baakebeddwa abasawo mu ddwaliro ly'e Mpigi era nebazuulibwamu akawuka akaleeta mukenenya.