Okulwanagana ku DP: waliwo ekibinja ekirumbye ekitebe
Wabaddewo okuwanyisiganya ebikonde n’ensamba ggere ku kitebe ky’ekibiina ki Democratic Party wakati w’ekiwayi ekiwakanya obukulembeze bwa pulezidenti aliko Nobert Mao n’abamuwagira. Akaleega bikya okutandika kiddiridde bano okugezaako okuyingira beetabe mu lukungana lwa bannamawulire Nobert Mao mwabadde alina okubaako ensonga zannyonnyola bannamawulire, kyoka ababade munda ne babagaana- awo kajjampuni n’abalagala mu bbwa. Poliisi ebadde okumpi yekakanyizza embeera.