OKUJJANJABA ABALUMIDDWA EMISOTA: Waliso abasabye gav’t ereete eddagala erikola obulungi
Wakyaliwo okusoomoozebwa mu by'okujjanjaba abantu ababa balumiddwa oba okubojjebwa emisota olw'ebbula ly'eddagala erirwanyisa oba erimalawo obusaggwa mu mubiri gw'omuntu alumiddwa omusota mu malwaliro ga gavumenti Okusinziira ku bakulu mu minisitule y'ebyobulamu eddagala lino lyabuseere nnyo nga okulisindika mu malwaliro kikolebwa nga wazzeewo obwetaavu era nga liba lyakulagiriza okuva mu tterekero ly'eggwanga ery’eddagala li National Medical Stores Kati ng'eggwanga likuza olunaku lw'emisota, abamanyi obulungi ebikwata kku misota baagala gavumenti ereete eddagala erikola obulungi ku balumiddwa emisota kubanga eririwo terikola nga bwekyetaagisa. (Okulabula ku bifaananyi)