OBUBAKA BW’OKUBALA ABANTU: Bannanyini mikutu gy’amawulire baliko bye bagaanye
Ekibiina ekitaba bannanyini mikutu gy'empuliziganya kiweze nga bwekitagenda kulangira bwerere bikwatagana nakubala bantu , wabula nebakkaanya ku kyokuwa omwagaanya obubaka bw'omukulembeze w'eggwanga ku nsonga y'okubala abantu .Akulira UCC Nyombi Tembo abadde ategeezezza nga emikutu gyona bwegirina okuwa omwaganya obubaka bw'omukulembeze weggwanga era nga abagezaako okugaana boolekedde okufiirwa layisinsi . Bannanyini mikutu gyamawulire wabula bagamba nti tebagenda kulangira bwerere bubaka bulala obukwatagana n'okubala abantu.