Kaabuyonjo ezimu ku katale k’e Nakawa zaggalwa, abasuubuzi bakukkuluma
Abasuubuzi mu katale k'e Nakawa, mu kampala balaajana olw'ebbula lya kabuyonjo mwebakyamira oluvannyuma lwa KCCA okuggala ezimu ku ze baali bakozesa ate nga nempya eyazimbibwa teggulwanga, ekiviiriddeko abantu okweyambira mu buveera n'obucupa. Bano bagamba kabuyonjo ezirimu emu yakusasulira nga ate endala eya kcca eliko obusenge butono ate ebeera nkyafu , nga ebiseera n'ebisinga bagiggalawo olw'obutabeeramu mazzi. Kati bano baagala KCCA eggulewo tooyi ze yaggala , n'okwongeza ku buyonjo bweyo ekozesebwa eriwo emu.