EDDAGALA LY’EKINNANSI: Mao agamba ssenfuka asaana kuyambibwa
Bannakibiina ki DP agamba nti bawagira Bannayuganda abakola eddagala ly’ekinnansi era baagala gavumenti ebakwatireko okukulaakulanya eddagala pryo n’okubawagira ne ssente enkalu basobole okugatta ku nkulaakulana n’eby’obujjanjabi. Pulezidenti wa DP Nobert Mao bw’abadde ayogera ku nsonga eno, ajulizza David Ssenfuka anoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi eriyamba ku ba kkansa ne ssukaali ennaku zino awulirwa nga agamba nti abamulwanyisa lw’ebyo by’akola batuuse okumuviirako okuva mu ggwanga akolere awalala.