Eby’ekyapa kya Nakibuuka, Lukyamuzi akiraze ku b’enganda, baakuziika essaawa yonna
Bwe watabaawa kikyuka, omugenzi Maria Tereza Nakibuuka eyaleka alaamye obutamuziika okutuusa nga ekereziya ewaddeyo ekyapa kye yagiteresa, waakuziikibwa mu nnaku bbiri okuva kati. Kino kiddiridde Abakakiiko akalondoola ebyettaka mu maka g’obwa Pulezidenti akakulirwa Brig. Moses Lukyamuzi okwanjulira ab’enganda za Nakibuuka ekyapa ekibaddeko okusika omuguwa kye baafunye okuva eri Eklezia era ne babasaba bategeke ebyokuziika. Wabula ekyapa kino kisigadde mu mikono gyabakakiiko abagenda okusigala nga balondoola ensonga eno okugiggusa obulungi. Babeetikkiddeyo amabugo ga bukadde 10 obuweereddwayo omukulembeze w'eggwanga okukola ku by’okuziika.