BESIGYE NE LUTALE OKWEYIMIRIRWA:Kkooti esalawo ku lwakutaano
Oludda oluwaabi mu misango egivunaanibwa Dr. Kizza Besigye ne munne Obedi Lutale, lulumye n’ogwengulu okumatiza omulazi wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma obutageza kuyimbula bantu bano olw’okuba nti bayinza okulemesa entekaateka zaabwe okubavunaana obulungi.Bano bajjukizza omulamuzi nti Besigye ono yali akumyeko omuliro mu bantu ne Lubega Mukaaku kyokka nga yali yakaweebwa akakalu ka kkooti.Bbo bannamateeka ba Besigye bakanze kujjukiza mulamuzi nti abantu baabwe baasussa dda ennaku 180 ezoogerwako oli okweyimirirwa ku buwaze singa aba tatandikanga kwewozaako.