Tetugenda kwegayirira olw’abaakwatibwa: Bobi Wine ayanukudde Pulezidenti Museveni
Omukulembeze w'ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ayimiriza omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathius Mpuuga ku kifo ky'omumyuka wa Pulezidenti wa NUP owa Buganda .
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekibiina nga kiriko omukono gwa Pulezidenti w'akyo Robert Kyagulanyi , ensonga za Mpuuga era zisindikiddwa mu kakiiko akafuzi ak'ekibiina gyeziba zikolerwako . Okuyimrizibwa kwa Mpuuga kwesigamiziddwa ku bukadde ebitaano bwalangibwa okufuna mu palamenti nga akasiimo olw'emirimu gyeyakola nga akulira oludda oluvuganya gavumenti .
Kyagulanyi agamba nti okunyonyola kwa Mpuuga ku nsimbi zino eri kibiina tekumatiza so nga ate kukontana n’empisa wamu n’ennonno z'ekibiina .
Kinajjukirwa nti aba NUP bawandiikira palamenti nga bagala ono ajjibwe ku kifo ky'obwa Kamiisona kyoka nebategeezebwa nga bwekitajja kusoboka .
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ssabiiti eno Mpuuga yategeezezza nga bwatalina musango era nga mangu nnyo ye nebwebafaanana endowooza bagenda kubakagana neddimu eryokugogola ekibiina kyebagamba nti kijjudde enge n'obukyayi era nga kyelagira mu kwonoona erinnaya lye okugenda mu maaso ensangi zino.