Minisita Sam Mayanja yekkokkodde emivuyo gyettaka egyolekedde muggwanga
Minisita omubeezi owebyettaka Dr Sam Mayanja yekkokkodde emivuyo gyettaka egyolekedde muggwanga naddala mu Buganda. Mayanja agamba okuva bweyalondebwa mukifo kino asinganye okusomozeebwa mukutaputa amateeka g'ettaka naddala kuttaka lya Milo. Okwogera bino Mayanja abadde mukwebaza olwomukulembeze okuddamu okumulonda kumubeezi bwa minisita we byetaka. Minisita Mayanja asinzidde wano nategeeza nga ekifo omukulembeze weggwanga kyeyamukwasa nga bwekyali kibulako Katono okumuyinga olwabeyita abanene muggwanga okutandika okumutisatiisa okuva kunsonga zettaka lyabwe. Mayanja agamba, mubbanga lyatudde mukifo kino endoliito zettaka mu Buganda kwekusomozeebwa kwabadde akyasinze okusingana wabula nalabula nti kaggwake kettonye obulippo kuttaka bwakuggwawo.