OLUTALO LWE SUDAN: Munnayuganda Nahiya Faisal Farouk annyumya byeyayitamu
Oluvannyuma lw'olutalo okubalukayo mu Sudan nga 15 April, 2023, amawanga ag'enjawulo gadduka okuggyayo bannansi baago ng'embeera tenasajjuka.Uganda y'emu ku mawanga agaayanguyira abantu baago abaasoba mu 200 era yabaggyayo wayise ssabiiti bbiri ng'olatalo lutandise.Nahiya Faisal Farouk, y'omu ku bannayuganda gavumenti beyataasa obutamizibwa musu mu nsi ngwira. Ono yayita mu kusoomozebwa kungi okwatuuka n'okumukosa ku bwongo nga kati alina okubaako ky'akola okutwaliriza obudde n'okwerabira ebyaliwo.