PAASIKA YABASODOKISI: Abakkiriza basabiddwa okwettanira okwagala
Abosodokisi basabiddwa okukozesa amazuukira ga Kulisitu okwezza obugya ko n'okugoberera amateeka age enzirikirizza ya Kulisitu, naddala okukuuma emirembe, okwagala bannabwe wamu n'okuteekawo obwenkanya.Bino bibadde mu bubaka bwa Ssaabasumba wabosodokisi Jeronimous Muzeeyi mu kusaba kw'okukuza amazuukira ga Kristo Mu nzikiriza y'abasodokisi, amazuukira gakuzibwa oluvannyuma lw'embaga y'okuyitako ekwatibwa ng'eno yabaddeyo sande ewedde.