Okubala ebisolo: Ente ziri obukadde 14, embizzi obukadde musanvu
Ekitongole kya gavumenti ekivunanyizibwa ku bibalo ki Uganda bureau of Statistics kifulumizZa alipoota eraga obungi bw’ebisolo n’ebinyonyi ebikuUmibwa ewaka mu Uganda. Ebivudde mu kubala ebisolo biraga nti Uganda erina ente obukadde kumina buna n’ekitundu (14.5) , embuzi obukadde kumina musanvu mwemitwalo ana (17.4m), Endiga obukadde buna mwemitwalo anna (4.4m) ne mbizzi obukadde musanvu mu emitwalo kumi (7.1m).