Okutwalira amateeka mu ngalo: Agambibwa okusobya ku mwana attiddwa
Abatuuze ku kyalo Mayirye ekisangibwa mu gombolola y’e Kakindu mu Mityana bavudde mu mbeera ne bakakkana ku muvubuka gwebateebereza okusobye ku mwana nebamuligita emigobante egimusse.
Okusinziira ku batuuze omuvubuka ono abaadde agufudde muze okusobya ku baana n’abakazi.