Okugezesa ekisaawe ky'e Namboole: Abawagizi b'omupira bazze mu bungi
Bannayuganda abawagizi b'omupiira beeyiye mu kisaawe kya Mandera e Namboole okubaawo nga bajjulizi nga ekisaawe kino kiddamu okusambibwamu omupiira oluvanyuma lw’okumala ebbanga nga kiddaabirizibwa.
Bangi kubano bazze kulaba oba kituukanye n’omutindo gw’ebisaawe byebalaba mu nsi za bulaaya.