Isa Matovu yatemwako okugulu: Atulaze engeri gy'avugamu emmotoka
Isma Matovu gw’etwakulaze olunaku lw’eggulo eyatemebwako okugulu oluvanyuma lw’okukubwa essassi yafuuka muleme eyeesobola n’ewankubadde ayita mu bugubi bwamaanyi ddala.
Obulemu bweyatusibwako bwaviirako family ye okusatulukuka n’ayawukana n’emukyala we n’abaana n’abasindika mu bajjaja baabwe nga takyabasobola.
Kyoka wadde yasigaza okugulu kumu yaddamu okuvuga emotoka, asobole okufuna eky’okulya. Wandyagadde okulaba engeri omuntu ow’okugulu okumu gyavugamu emotoka ey’ebiziyisa ebisatu.