EKIRAGIRO KYA BBANKA ENKULU KU NSIMBI :Ab’amaduuka ga ‘mobile money’ balabuddwa
Bbanka y'egwganga enkulu etegeezea nti gyebujja abalina amaduuka ga Mobile money ne Airtel Money abanaagana okussa ekiragiro ekyayisibwa ku bajjaayo ssente ezisuka mu kakadde akalamba okusooka okulaga ebibakwatako nga ye ndaga muntu ku banna Uganda oba paasipoota ku baagwira, bajja kuwalirizibwa okubatwala mu mbuga z'amatteeka .okusinziira ku bakuru mu banka enkulu ekigendererwa kyakulwanyisa bikolwa byabumenyi bw'amatteeka ebize byeyolekera mu bantu abajjayo ssente ennyinyi . Abalina amadduuka ga Mobile Money betwayogerako nabo ku ntandikwa ya wiiki eno baatutegeeza nti tebannanyiikira kwettanira nkola eno wadde nga baalagibwa okugissa mu nko