Robert Kyagulanyi asiibye Kitgum ne Gulu nga anoonya akalulu
N’olwaleero Poliisi yezoobye n’abawagizi ba Robert Kyagulanyi ababadde bakungaanye mu bungi okumwaniriza mu kibuga ky’e Gulu.
Ate yo mu distulikiti y’e Kitgum Robert Kyagulanyi gyabadde alina okutandikira poliisi temukiriza kubigambibwa nti RDC wa Disitulikiti eno yawadde ebiragiro ono obutagendayo kukolayo kampeyini.